ENTEBBE
Bya Stephen Kafeero
Waliwo omukozi mu nyonyi ya Emirates agudde okuva ku nyonyi ku kisaawe Entebbe nabuuka nebisago.
Ennyonyi ya Emirates EK 730 ebadde yakattikul abasabaze nga etikka balala okubatwala mu Dubai bino webibereddewo.
Aberabiddeko bategezeza nti omukyala ono asirittuse okuva ku madaala ate ababala bagamba nti agudde oluggi lwemabega nagwa, ekigambibwa nti alabika abadde ayagala kwetta.
Bwabadde ayogerako naba Daily Monitor, avunayizibwa kubyamauwlire mu kitongole kya Civil Aviation Authority, Vianney Luggya akaksizza ekibaddewo.
