Eyesimbyewo ku bukiise bwa Ntenjeru South Fred Baseke yekubidde enduulu ku poliisi olw’efujjo elyeyongedde mu kalulu.

Baseke yemulugunya nti waliwo ab’ettima abazze batimbulula ebipande bye nebabyokya mu tawuni ye Kangulumira
Ono era munakuwavu olw’abantu abatanategerekeka abagenda bagatta omusenyu mu sukaali nebagabira abalonzi nti y’amubawadde n’ekigendererwa eky’okutattana erinya lye.
Baseke avuganya n’omubaka Patrick Nsanja mu kalulu akaliko n’obugombe.