Amawulire

Abagamba nti Oulanya yafa butwa poliisi ebeetaaga

Abagamba nti Oulanya yafa butwa poliisi ebeetaaga

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi egenda kuyita Muzei Nathan Okori taata w’omugenzi Jacob Oulnyah, akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi, omubaka Gilbert Oulanya, minisita wamawulire Dr Chris Baryomunsi namyuka ssentebbe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda, okujiyambako mu kunonyereza ku nfaya Oulanyah.

Kino kidiridde amawulire agagenze gayitingana, nga getoloola ku bantu bano ngabamu balumiriza nti Oulanyah teyafa nfa eyabulijjo naye bamuwa butwa.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe e Naguru, omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti alipoota zabasawo okuva mu Uganda nemu Seatle abadde sipiika gyeyafiridde, tezirina weziragira butwa.