Amawulire
Abébyóbulamu mu Amuru basatira lwa bigenge
Bya Marko Taibot ne Tobbias Owiny
Abebyobulamu mu disitulikiti eye Amuru batandise okunonyereza ku bantu 8 abafunye endwadde ye bigenge.
Akwasaganya endwadde ya kafuba ne bigenge mu disitulikiti eno, Louis Obalo, agambye nti bafunye sampo ku bantu 8 abateberezebwa okuba ne bigenge era ziri mu kwetegerezebwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Newankubadde disitulikiti efunye abantu abalala 8 abalina ebigenge, Dr Obalo agambye nti balina na bantu abalala 6 abasangibwa bajanjabibwa ekirwadde kye kimu.
Ate ye Dr Angelo Ocheng, akulira eddwaliro lya Atiak Health Centre IV agambye nti yadde tebanafuna mulwadde wabigenge bali bulindaala kunsonga eno kuba ekirwadde kye kimu kyawulidwako mu disitulikiti ezibaliranye okuli Adjumani ne Lamwo ezibudamya ababundabunda.
Mungeri yemu Dr Jimmy Komakech, akwasaganya ekirwadde kino mu kitundu agamba nti ekirwadde kino nga okweyongera kivudde ku basawo mu malwaliro obutaba na busobozi bulengererawo kirwadde kino yadde okumanya obubonero byakyo.