Amawulire

Gavt eyongedde amaanyi mu kulwanyisa omusujja gwénsiri

Gavt eyongedde amaanyi mu kulwanyisa omusujja gwénsiri

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Gavt ezzemu neyeyama nga bweri emmalirivu okwongera amaanyi mu kawefube owokulwanyisa omusujja gwensiri.

Okusinzira ku minisita owe Dr. Jane Aceng, bagenda kutunulira nyo ekitundu West Nile, Lango, Karamoja, Busoga ne Acholi.

Mu bubakabwe mu kukuza olunaku olwokulwanyisa omusujja gwensiri munsi yonna olwa World Malaria Day, Acheng agambye nti bali muntekateeka eyokuvaayo ne ddagala erigema omusujja gwensiri mu baana abali wansi wemyaka 5 omwaka ogujja.

Okusinzira ku minisitule, abantu 16 bebafa buli lunaku wano mu ggwanga olwomusujja gwensiri songa abalala 25,000 bebakwatibwa omusujja guno buli lukya.

Ate ebibalo okuva mu kibiina kyensi yonna ekye byobulamu, biraga nti abantu emitwalo 40 bebafa buli mwaka olwomusujja gwensiri, kubano 94% bava munsi za Africa.