Amawulire
Yafeesi ya Kaliisoliiso enunudde obuwumbi bwensimbi 4 okuva mu nguzi
Bya Benjamin Jumbe,
Kalisoliiso wa gavumenti, basobodde okununula ssente obuwumbi bwa silingi 4, ezibadde zibulankanira mu bikolwa byobulyake mu mirimu gya gavumenti egyenjawulo.
Kino kibikuddwa amyuka kalisoliiso wa gavumenti Anne Muhairwe mu nsisinkano gyabaddemu neba ssentebbe bwazi disitulikiti mu Kampala, ngagambye nti ssente ezo basobodde okuzitaasa wakati wa 2018 nomwaka gwa 2021.
Agambye nti mu bbanga eryo basobodde okunonyereza ku misango gyenguzi 4,000, awamu baakutte abantu 97 abakozi ba gavumenti.
Muhairwe agambye nti olutalo lukyagenda mu maaso ku nguzi nemuzi gavumenti ezebitundu.