Amawulire
Gavt etandise okwetegereza ebisale ebisambibwa mu Masomero ga bonna basome
Bya Prossy Kisakye,
Gavumenti okuyita mu minisitule yebyenjigiriza nemizannyo batandise okunonyereza ku bisale ebisabibwa mu masomero aga gavumenti agabonna basome ku mutendera gwa pulayimale ne sekendule.
Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku Media Center mu Kampala, omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Dennis Mugimba, agambye nti batandise okunonyereza kuno oluvanyuma lwekiragiro kyomukulembeze weggwanga ekyabawereddwa.
Agambye nti omukulembeze wegwanga ayagala okumanya ssente ezo, oluusi zebayita ezekimaptiira lwaki zisabibwa mu masomero.
Mugimba ategezezza nga bwebakatuuka mu disitulikiti 46 namasomero 50 namaka 1000, nga baliko byebazze bababuuza okubaako byebazuula ebinatekebwa mu alipoota yaabwe.
Okunonyereza kuno kuwagiddwa gavumenti ya Norway, nga kwebajja okusinziira okuddamu okwekennenya ssente gavumenti zeteeka mu nkola ya bonna basome.