Amawulire

Ababbi balumbye esundiro lya mafuta ne batematema bebasanzewo ne babba nénsimbi

Ababbi balumbye esundiro lya mafuta ne batematema bebasanzewo ne babba nénsimbi

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Poliisi e Mukono eri ku muyigo gwa bantu abatanategereekeka nga balina ebinjambiya balumbye essundiro lya mafuta erimanyidwa nga stabex erisangibwa ku kyalo Namayuba ku luguudo lwe Katosi mu ggombolola ye Nakisunga ne batematema ba asikaali babbiri saako n’abakozi  ababadde batunda amafuta mu kiro babbiri , oluvanyuma ne basiba abakozi obundoya ne bayingira akasenge mwebatereka ssente ne bamenya seefu ne bakulita n’obukadde bw’ensimbi obutanategerekeka.

Bano olwamaze nebakulita n’emmundu bbiri eza basikaali

Okusinzira ku mwogeezi wa poliisi mu Kampala n’emirirano Luke Oweyesigire agamba nti abantu banna bebatemedwa kuliko Buduma Henry ne Butaka Yusufu basikaali

ate Mbatudde Mariam ne Mulo Paul nga bano bebadde batunda amafuta  bano badusiddwa mu ddwaliro lya Herona mu Kisoga nga tasibewo tasulewo yali ku mimwa.

Oweyesigire agamba nti basobodde okununula emmundu bbiri ne bimu ku bintu byebabadde bakoseza nga okunonyereza bwekugenda mu maaso