Amawulire
FDC esabye abakulu bamasomero obutagoba bayizi abatalina Fiizi
Bya Prossy Kisakye,
Ngámasomero gagudewo olusoma olwa taamu eyókubiri, ekibiina kye byobufuzi Forum for Democratic Change (FDC) asabye abakulu bamasomero obutagoba bayizi abakomyewo nga tebalina bisale byamasomero ne byetaago ebirala wabula babaguminkirize.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe e Najjanankumbi, omwogezi wa FDC, Ibrahim Ssemujju Nganda, agambye nti abakulu ba masomero balina okukikkiriza nti abazadde bayita mu kaseera akazibu olwemwendo gye bintu egiri waggulu wakati mu bwavu obusensedde banauganda.
Ono agamba nti abazadde bakkirizibwe okusasula mu bitundutundu okutuusa lwebanamalawo ensimbi kiyambeko abaaana okusigala mu bibiina.
Ssemujju era asabye gavumenti okulaba nti abayizi bonna abali mu bibiina ebyakamalirizo bakkirizibwa okwewandiisa basobola okukola ebigezo ebyakamalirizo ebya UNEB yadde nga tebalina nsimbi wakiri abamasomero balikwata ebivudde mu bigezo.