Amawulire
Omwaka omuggya- Ssabassajja Kabaka, Museveni bawadde obubaka
Ekibuga Kampala mu kiro ekikeseza olunaku lwalero kibutikidwa okubwatuka kw’ebiriroriro, nga bana Uganda baniriza omwaka omujja ogwa 2014.
Amasizizo, wamu n’ebifo ebisanyukirwa,bikubyeko bugule,ng’abantu basanyukira omwaka omujja.
Ebifo omuli ekisaawe ekye Nakivubo, Namboole, Sheraton hotel, Bat valley primary school n’ebirala byebisinze okubeeramu abantu abangi
Abantu abamu balabiddwa ku myaka ga leero nga badda ewaka , kyokka ng’abamu batamidde byansunso.
Ng’ali ku mikolo gy’okusiibula omwaka mu lubiri e mengo, Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi asabye abaganda okwongera okwetanira obumu mu mwaka 2014.
Omutanda agambye nti wadde nga waliwo ebisomooza obuganda, kyoka abaganda bwebanasigala ekitole, bino byona byakuwangulwa.
Ye Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaganda okwongera okukola ennyo mu mwaka 2014, okusobola okwegobako olunabe lw’obwavu.
Mayiga era asabye abaganda okwetanira ennima ey’omulembe, nadala mu kulima emwanyi n’amatooke.
Ne pulezidenti Museveni ategezeza ng’egwanga bwe lirina okukendeza ebbeeyi y’amasanyalaze,okuttukiza entambula y’egaali y’omukka awamu n’okukola enguudo mu mwaka omuggya.
Mu bubaka bwe obw’omwaka Museveni ategezeza ng’ebyenfuna by’eggwanga bwebusuubirwa okulinya n’ebitundu 6.2%.