Amawulire

Omuwendo gw’abalina obuzibu ku bwongo gweyongedde

Omuwendo gw’abalina obuzibu ku bwongo gweyongedde

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Minisitule eyebyobulamu yakukola okunonyereza okwetoloola eggwanga lyonna okuzuula omuwendo omutuufu ogwa bantu abalina obuzibu ku bwongo.

Okusinzira ku Dr. Charles Olaro, Director for clinical services mu minisitule agambye nti omuwendo gwa bantu abalina obuzibu ku bwongo gweyongedde ne bitundu  5.1% mu bakyala ate abaami bali 3.6% mu ggwanga lino nga abasing bagwa edalu lwa birowoozo bingi

Ono era ategezeza nga bannauganda ebitundu 35% bebalina obuzibu ku bwongo wano walagidde obwetaavu obwokukola okunonyereza abantu bano bamanyibwe basobole okuyambibwa.