Bya Damalie Mukhaye
Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya FDC batanudde okubanja nti gavumenti eveeyo enyonyole obukuubagano obuliwo wakati waayo ne jinaayo eya Rwanda, ekyaviriddeko n’okuggala ensalo.
Bwabadde ayogera ne banamawulire ku kitebbe kyekibiina e Najjanakumbi, omumyuka womwogezi wekibiina John Kikonyogo agambye nti ebyogerwa, zzi gavumenti zombie tebimatiza.
Ono agambye nti obukubagano buno bukosezza nnyo abasubuzi ngekyamangu kyekigwana okukolebwa.