Skip to content Skip to footer

Eyali Ssenkulu wa MTN agenze mu kooti

Bya Ruth Anderah

Eyali ssenkulu wa MTN Uganda Wim Joris Vanhellepute gwebatikka okumuzaayo ewaabwe, addukidde mu kooti neyekubira enduulu.

Ono baamutikka nebamuzaayo mu gwanga ly Belgium nga 14th February, ku kiragiro kya minister owensonga zomunda amu gwanga Rtd Gen. Jeje Odongo.

Kati mu mpaaba ye gyatadde mu kooti enkulu mu Kampala, agamba nti ekiragiro kya minister kyamuteeka mu kifananyi ekibi, ngomugwira omumenyi wamateeka, songa abadde akolera mu Uganda okumala ebbanga ngagondera amateeka okumala emyaka 25.

Okuyita mu banamateka be aba Birungi and company advocates, ayagala gavumenti ya Uganda emuliyirire kubanga tewaliiwo bwenkanya bwonna, nti bamuwa aomukisa aokubaako kyanyega kwebyo byebamulumiriza.

Ono era agamba nti bamulesa ne mukyala we munnYuganda Barbra Adoso nabaana be 2, nga batuuze be Lubowa mu divison ye Makindye.

Leave a comment

0.0/5