Bya Benjamin Jumbe
Omubaka wa munisipaali ye Mityana Francis Zaake, awereddwa okweyimirirwa kwa bukadde 5, wabula ezitabadde za buliwo.
Zaake ngabadde ku alimanda mu kkomera e Gulu alabiseeko mu kooti enkulu, mu maaso gomulamuzi Steven Mubiru nasaba okweyimirirwa.
Omwezi oguwedde omubaka Zaake yakwatiddwa nebamusomera emisango gyokulya mu nsi olukwe, era nebamusindika ku alimanda.
Abamweyimiridde kubaddeko omubaka we Butambala, Muhmadh Muwanga Kivumbi mukyala we ne muganda we, nabo ku bukadde 5 nazo ezitabadde za buliwo.
Kati kooti eno ekubyeko abantu mu lutuula lwa kooti eno.
Ababadde mu kooti kubaddeko omubaka wa Kyadondo East, Kyagulanyi Sentamu, Latif Ssebaggala, Medard Ssegona, Allan Ssewanyana, Paul Mwiru, Mathias Mpuuga, Ssemuju Nganda, Muwanga Kivumbi nabalala.
Omubaka Zaake nabantu abalala 35 era basubirwa okulabikako mu kooti e Gulu nga 14th March 2019, olwokulya munsi olukwe.
Bano kigambibwa nti bebakuba mmotoka yomukulembeze we gwanga amayinja, mu biseera byokulonda aomubaka wa munispaali ye Arua.