Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni ne munne owa Rwanda Paul Kagame, basabiddwa bakomye, okutobeka ensonga zaabwe ez’obuntu mu nzirukanya yensi zaabwe 2.
Okusinziira ku Harold Achema omukugu mu nsonga zamawanga ezisukka ensalo, abantu ba Rwanda ne Uganda tebalina butakanya bwonna, wabula obukuku bulabika buli wakati wabakulembeze 2, bbo ngabantu.
Ono alaze obwetaavu abakulu bombi okutuula, babeeko byebagonjoola.
Achema era agambye nti kino kirina nokukolebwa neku mukulembeze we gwanga lya Burundi, Pierre Nkurinziza okusobola okugatta amawanga gano.