Ebyobulamu
Abantu abanene beyongedde
Omuwendo gw’abantu abanene ennyo mu nsi yonna gweyongedde nga gwekubisizzaamu emirundi kumpi ena.
Abantu kati abanene munsi yonna basoba mu kawumbi akalamba
Okunonyereza kuno kukoleddwa abasawo okuva mu Bungereza nga bazze babala abantu abanene ennyo okuva mu mwaka ogwa 1980.
Kigambibwa okuba nti ku buli bantu basatu b’osanga kubaako omunene ennyo era nga gavumenti ezitali zimu zisabiddwa okussaawo amakubo aganayitibwaamu okumalawo ekizibu kino.
Mu Bungereza, abantu abakulu abaweza ebitundu 64 ku kikumi banene nnyo
Obunene obuyitiridde buvaako endwadde ng’okusanyalala, sukaali n’omutima.
Obunene buno nno businga kuba mu mawanga agakyakula nga Egypt ne Mexico nga kigambibwa okuba nti kiva ku bantu okwagala okulya ebisava mu kifo ky’okusigala ku mmere gyebabaddeko.