Amawulire

Poliisi e Ssembabule etandise okunonyereza ku butemu obwakolebwa ku Musuubuzi

Poliisi e Ssembabule etandise okunonyereza ku butemu obwakolebwa ku Musuubuzi

Ivan Ssenabulya

May 17th, 2022

No comments

Bya Malik Fahad,

Poliisi mu disitulikiti ye Ssembabule banonyereza ku butemu obwakoleddwa ku musubuzi wente bweyabadde atambula okuddayo awaka.

Omgenzi ye David Mushabe owemyaka 30 ngabadde mutuuze ku kyalo Nyabitanga mu gobolola ye Ntusi e Sembabule.

Kigambibwa nti omugenzi yaleeta ente e Kampala ku lunnaku Lwokutaano nazitunda obukadde 40 era okuva olwo abadde taddangamu kulabika.

Oluvanyuma omulambo gwe gwazuliddwa mu kitoogo ky’eKatigondo ku luguudo oluva e Sembabule okudda e Bukomansimbi.

Omwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda Muhamad Nsubuga akaksizza ettemu lino, agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Okusinziira ku George Ssekikubo kansala ku lukiiko lwa disitulikiti babadde banoonya, wabula basanze mulambo era kisubirwa nti baamubbako ssente ze zonna.

Okufa kwomusubuzi ono kuleseewo okutya okwamaanyi mu bantu b’ekitundu kino