Amawulire
Entiisa e Lugoba- Omulambo gubbiddwa mu ntaana
Bya Ivan Ssenabulya,
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Lugoba-Kiwenda mu disitulikiti ye Wakiso, abaayo bwebakedde ng’esigalira by’omutaka bibbiddwa okuva mu ntaana.
Omugenzi ye Livingstone Ssebunya yafiira ku myaka 60 mu mwaka gwa 2015, ngajjukirwa nnyo okuwerezaako mu Uganda Adventist Union, wabula bino byakoleddwa mu budde bwekiro ekyakesezza olunnaku lweggulo.
Omu ku bawala bomugenzi Nakakande Gladys, atubuliidde nti batebereza nyabwe Namwandu w’omugenzi okubeera emabega wekikolwa kino.
Agambye nti okuva emabega abaddenga ayagala okutunda ettaka yiika 5 okutudde ekigya kyabajajjabwe.
Atubuliidde nti ensonga zino zatuuse ku poliisi nemu bobuyinza abalala.