Ebyobulamu
Obulwadde bwa Hepatitis E- Disitukiti ziri mu katyabaga
Minisitule y’ebyobulamu erangiridde nga distilukiti eziriraanye Napak awabaluse obulwadde bwa Hepatitis E bweziri mu katyabaga k’abazibeeramu okufuna obulwadde bwebumu.
Obulwadde buno bwakatta abantu 13 ate ng’abalala abawera bali ku bitanda
Obulwadde bwa Hepatitis E bukwata kibumba ng’era buva ku bujama
Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti obulwadde buno tebulina ddagala libuwonya mu kadde kano ng’abantu balina kufuba kubuziyiza
Ono agamba nti bamaze okuyungula ekibinja kyaabwe okuyambako mu kusomesa abantu ku ngeri y’okubwewala n’okukola ku balwadde
Obulwadde buno bwakakwata abantu 300 mu disitulikiti ye Napak nga buno nno bwakoma okubalukawo mu mwezi gw’okutaano omwaka oguwedde.