Amawulire

Omusajja asibisiza eyali mukyalawe

Omusajja asibisiza eyali mukyalawe

Ivan Ssenabulya

May 19th, 2022

No comments

Bya Ruth Andearah,

Omusajja atuute eyali mukyala we gwalinamu omwana omu mu kkooti ng’amulanga kumubba.

Olishaba Sharon ne bba omupya Matovu Constantine nga bonna basubuzi ku container village basimbiddwa mu kkooti ya Buganda road mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Siena Owomugisha abasomedde omusango gw’obubbi nebagwegaana.

OLudda oluwaabi nga lukulembeddwamu Judith Nyinamwiza, lugamba mu mwezi gwa June 2021 ku container village wano mu Kampala,  Olishaba ne Matovu babba engato zeyali bba Tumwebaze Edson nga zona awamu zibalirirwamu obukadde bw’ensimbi za Uganda makumi 30.

Kati omulamuzi abawadde okweyimirirwa nga buli omu wakusasula akakadde k’ensimbi za Uganda kamu akobuliwo nga tebanafuluma kadukulu ka kkooti.

Ababeyimiridde bo buli omu ateredwako omusingo gwakusasula obukadde bw’ensimbi za Uganda 15 nga sizabuliwo.

Bakuddamu okulabikako mu kkooti nga June 13th 2022 omusango gutandike okuwulirwa.