Amawulire
EU esabye Gavt ku mutindo gwómubisi gwénjuki
Bya Moses Ndaye,
Omukago gwa bulaaya ogwa European Union gusabye gavt ya Uganda okulaba nti omubisi gwe njuki ogukungulwa wano guli ku mutindo gwensi yonna.
Okusinzira ku amyuka kamisona owebikolebwa mu Minisitule eyebyobulimi of the agriculture industry and Fisheries, Lawrence Uganda erina obusobozi obufulumya tani zomubisi emitwalo etaano buli mwaka wabula olw’obutaba nakusomesebwa abalimi batono abali mu bulunzi bwe njuki
Kati Uganda efulumya tani zomubisi 110 bul mwaka era ekitundu kugwo kitundibwa bweru wa ggwanga.
Bino Tusimo-muhangi, yabyogeredde mu lukungana lwa balunzi benjuki abasoba mu 1500 wansi wekibiina ekibagatta ki Western Silk Road nga kiri Bukoto mu Kampala.
Agambye nti waliwo okunonyereza kwe bakola era bwe banakumala abalunzi benjuki bakufunamu nyo.