Amawulire

Poliisi erungamiza kuntambula yébidduka ku lunaku lwa bajjulizi

Poliisi erungamiza kuntambula yébidduka ku lunaku lwa bajjulizi

Ivan Ssenabulya

May 30th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ngennaku ebula 3 okutuuka ku lunaku lwa bajjulizi okukuzibwa buli nga 3 june e Namugongo, poliisi efulumiza entabula ye bidduka nga byenabeera ku lunaku olwo.

Addumira poliisi ye bidduka mu kampala ne miriraano, Rogers Nsereko mu kiwandiiko kyafulumiza agambye aweze siteegi za taxi zonna ku luguudo lwa Namugongo ne Sonde road, mu katawuni ka Kyaliwajjala ne Naalya.

Nsereko agambye nti emotoka yonna enasangibwa nga epakinze mu bifo ebyo yakutwalibwa era dereva abonerezebwe.

Ono era ategezeza nti abavuzi bonna abatalina sitiika ze Namugongo bakusalibwako okuva ku He Naalya round about, Kireka, Kiira, Bweyogerere, Kyaliwajja ne Seeta trading centres, Namugongo-Butto-Kyobe.

Nsereko mungeri yemu agambye nti oluguudo lwa mwasanjala olwa Kampala-Jinja telugenda kutataganyizibwa

Kireka-Kyaliwajala road ne Kyaliwajjala-Naalya ku lunaku olwo zijja kuba za one way eri emotoka ezigenda ku biggwa