Amawulire
Abalwanirira ebyendya ennungi bagala wabeewo amateeka agakyusibwa
Bya Prossy Kisakye,
Akakiiko ka palamenti akavunayizibwa ku ndaya ennungi wamu ne bannakyewa abalafubana okulaba nti abaana beggwanga bafuna emmere ennungi basabye gavumenti okukyusa mu mateeka agaliwo ku byendya ennungi.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku palamenti wakati mu kufumintiriza ku ku lunaku lwomwana womuddugavu olwakuzibwa olunaku lweggulo, omukwanaganya wemirimu gyákakiiko Viola Nayebare, ayagala gavumenti okukola ennongosereza mu tteeka erya Uganda school health policy 2008 bongeremu akawayiro akalungamya ku mmere erimu ebirisa eri abaana ba masomero.
Ye ssentebe wa kakiiko kano Milton Muwuuma agambye nti bali mu kwetekateeka kuvaayo ne bbago lye tteeka erya Food and nutrition bill okugonjoola ebyandya mu baana.
Ye omubaka omukyala owa Terego Rose Obiga alabudde nti Uganda tesobola kuyingira mu lubu lwa middle income status ngensonga ye mmere etali nnungi mu ggwanga tegonjoddwa.