Amawulire

Gavt eremeddeko egamba Uganda yatuukadda mu lubu lwa bali yaddeyaddeko

Gavt eremeddeko egamba Uganda yatuukadda mu lubu lwa bali yaddeyaddeko

Ivan Ssenabulya

July 6th, 2022

No comments

Bya Ndaye Moses,

Gavumenti eremeddeko ku kya Uganda okuba nga yayingira dda mu lubu lwa mawanga agali yadde yaddeko newankubadde alipoota ya bbanka y’ensi yonna bino ebiwakanya.

Gavumenti nga eyita mu kitongole ekivunanyiaibwa ku bibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics egamba nti Banka yensi yonna yakozesa ebibalo ebikyamu okumanya enfuna yabannayuganda.

Mu kwogerako ne bannamawulire akulira ekitongole kya UBOS, Dr.Chris Mukiza agambye nti Uganda eri yaddeyaddeko nga Bannayuganda abasinga basobola okuyingiza ddoola za Amerika 1046 bwebukadde nga busatu buli mwaka nga bwekyali mu mwaka gwebyensimbi 2021 -2022.

Bweyali ayogerako eri eggwanga gyebuvuddeko, pulezidenti Museveni yakakasa nti Uganda yatuuka dda mu luse lwamawanga agali yaddeyaddeko wabula Bbanka y’ensi yonna bino nebisambajja.

Okusinziira ku bibalo bya banka yensi yonna, omwaka gwebyensimbi ogwa 2021, ssente ezaafunibwa buli munnayuganda zaali ku ddoola 840 ssi lukumu nga gavumenti bweyategeeza.

Wabula Mukiza agamba Banka yensi yonna yatunulira obungi bwabannayuganda obukadde 47 so nga Uganda ekibalo byayo biraga abantu obukadde 42.