Ekitongole kya Kampala Capital City Authority kitegezezza nga amalwaliro gaakyo 2 bwegatanetegeka kutandika kukola ku balwadde basengulwa okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago erili mu kuddabirizibwa mu kiseera kino.
Akulira eby’obulamu mu KCCA Dr. David Sserukka agamba amalwaliro okuli Kiruddu ne Kawempe ab’eddwaliro lye Mulago gy’ebalina okusengulira abalwadde mukiseera nga liddabirizibwa teganaggwa bulungi.
Sserukka agamba amalwaliro gano tegalina zi generator sso nga gakyazimbibwa okutuusiza ddala omwezi ogujja.
Wabula agamba nabo bakola butebalira okulaba nga byebazimba biggwa olwo batandike okwaniriza abalwadde okuva e Mulago.