Akakaiiko ka parliament akakola ku by’obugaga eby’ensibo kasabidwa okuteeka NEMA kuninga ebabuulire omuwendo gw’entobozzi gwekuma
Kinajukirwa nti uganda yakoma okubala entobazzi mu mwaka 2008, wabula nga okuva olwo nyingi zizze zesengwako abantu.
Bwabade alabiseeko eri akakiiko ka parliament akakola ku by’obugaga eby’ensimbi, minister akola ku butonde bwensi mu government ey’ekisikirize John Kenny Lukyamuzi agambye nti NEMA yateekawo ekikwekweto kyokusazaamu abyapa byabantu abasenga mu ntobazi, kyoka nakati mpaawo kyaba kyali kisazidwamu nekiragibwa.
Ono agamba nti kino kikwekweto kyalngirirwa mu kampala Mukono na Wakisomwoka , kyoka nga mu gwanga lyona entobazzi ziwedewo.
Kati ono ayagala Budget ya ministry yobutonde bwensi egire nga etuulirwa okutuusa nga ensonga nga zino zikoledwako
Mukakiiko kekamu kano era Parliament mwesabiridwa okuvaayo n’amateeka aganalungamya ku ky’okugoba abantu ku ttaka, kko nokubaliyira.
Bw’abadde alabiseeko mu maaso g’akakiiko, minisita mu gavumenti y’ekisikirize akola ku byamasanyaraze , nebyibugaga ebyensibo Florence Ibi agambye abantu bangi bagobwa ku ttaka awatali kubaliyirira yadde kino kiri mu mateka
Ono agamba nti eby’obugagga bingi bikyavumbulwa mu ttaka ly’abantu, kale nga abakosebwa beetaga babewo neteeka eriyinza okubayamba okuliyirirwa.
Ono agamba nti yadde nga amateeka agawa abantu obwananyini ku ttaka mwegali, bangi ku bakoseddwa baviiramu awo nga babagobye ku ttaka.