
Gavumenti eyolekedde okufiirwa obuwumbi obusoba mu 40 oluvanyuma lw’ababaka ba palamenti okukozesa obuyinza bwabwe nebakyuusa eteeka eribalagira okusasula omusolo ku misaala gyabwe nga kati bakulya kawewevu awatali musolo gukekejjuddwako.
Ababaka bano bakyusizza enyingo y’ebyemisolo eya 2016 nebeggya mu bantu abalina okusasula omusolo.
Enongosereza zino zakoleddwa ssaawa 2 ezekiro ngekiteeso kileteddwa omubaka wa Rubanda East Henry Musasizi nekisembebwa omubaka we Kabula James Kakooza n’ababaka abalala nebabegattako yadde nga minisita w’ebyobulamu omubeezi Sarah Opendi abadde agezezzaako okubakomako wabula ngasiwa nsaano ku mazzi.