
Ate olukiiko olutaba bannadiini ab’enzikiriza ezenjawulo nabo bayingidde mu nsonga z’okulwanagana kwe Kasese.
Bano nga bakulembeddwamu Mufti wa Uganda Sheikh Ramadhan Mubajje basuubizza okusaba gavumenti eyongere okunonyereza ku nsonga eno ate wabeewo nokusonyiwagana.
Gyebuvuddeko omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kasese Winnie Kiiza yasomozezza gavumenti enyonyola ddala ani atta aba Konzo.
Abantu 45 bebakattibwa okuva ekitundu kya Rwenzori kitabanguka.