E Ssembabule abatuuze be Mateete bagobye omukazi ku kyalo lwakuwemula.

Florence Nabuma omutuuze ku kyalo Kyabakaga y’atakyalina maka oluvanyuma lw’abatuuze okumunabira mu maaso nti agagambo gamokola gabayinze .
Nabuma okugobwa ku kyalo kiddiridde okuwemula muliranwa we Jane Nakavubu eyekubidde enduulu mu bakulu b’ekyalo abasazewo omukazi ono bamugobe kubanga bazze bamulabula naye nga balinga abafuyira endiga omulele.
Ssentebe w’ekyalo Sam Mutagubya agamba Nabuuma ono tawemula alina kyanonya kale nga ajja kuboononera abaana kwekusalawo bamugobe ku kyalo.