Skip to content Skip to footer

Gavumenti efunvubidde ku Buseegu

muhwezi
File Photo: Muhwezi ngayogeera

Minisitule y’ebyamawulire ekakasizza akakiiko ka bantu 9 abagenda okulondoola ebintu by’obuseegu mu ggwanga.

 

Nga ayogerako nebannamawulire mu ofiisi ya ssabamininisita, minisita w’ebyamawulire Jim Muhwezi ategezezza nga obuseegi bwekikyali okusoomoza okwamanyi sso nga bannayuganda bangi beyunira eby’obuseegu.

 

Muhwezi agambye obuseegu ate buyitiridde mu bavubuka ekibaleetedde agayisa agavundu gamba nga okusobya ku baana abatanetuuka, okukwata abakazi n’okulya ebisiyaga byonna ebitali mu mpisa zakiddugavu.

 

Kati akakiiko kano kakukolagana akakakasiddwa kakukolaganira wamu ne minisitule y’empisa n’obuntubulamu wamu ne poliisi okulwayisa obuseegu buno.

Leave a comment

0.0/5