
Omusawo munnayuganda akolera mu ggwanga lya Australia Aggrey Kiyingi kyaddaaki gavumenti emugyeko emisango gy’okwetaba mu kutta abakulembeze b’abayisiraamu wano mu ggwanga.
Kiyingi abadde omu kw’abo abavunanibwa okutta bamaseeka
Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita atisse munnamateeka wa gavumenti Charles Kamuli ebbaluwa ekakasa nti Kiyingi tebakyamuvunaana.
Mwenda ku bavunanwa basabye kkooti eyimirize eby’okuwulira omusango guno okutuusa nga kkooti etaputa ssemateeka esazewo ku kwemulugunya kwabwe mwebawakanyizibwa mu kkooti eno sso nga ne ssabawaabi wa gavumenti yagaana okulaga obujulizi kweyesigama okubavunaana.
Okusaba kuno kuweereddwayo munnamateeka w’abavunaanwa Fred Muwema.
Wabula munnamateeka wa gavumenti Charles Kamuli naye kuluno awaddeyo fayilo 3 omuli obujulizi, nga era asuubizza nti essimu,pikipiki, Laptop n’ebizibiti ebirala wakubireeta mu nnaku 7.
Kamuli agasseko nti abavunaanwa abalala 26 bawandiika amabaluwa agasaba okuwulira omusango guno kugende mu maaso kale nga tekiggya kubeera kyabwenkanya kuguyimiriza.