Ebyobulamu
Eyafiirwaako omwana addukidde mu kooti
Omukyala eyafiirwa omwana we gweyali yakazaala addukidde mu kooti.
Mastulah Nambooze y’awaabye eddwaliro lya Case medical clinic n’omusawo eyamuzaalisa Dr Haruna Mwanje.
Omukyala ono agamba nti omusawo ono yamulagajjalira ekyavaako omwana we okufa ate naye y’akosebwa ku nabaana
Ono agamba nti mu mwezi gw’omwenda mu mwaka 2012, yatandika kunywa eddagala mu ddwaliro lino okutuusa mu mwezi ogw’okusatu ogw’omwaka 2013
Mu mwezi gw’okuna ebisa byatandika okumuluma era n’aweebwa ekitanda
Oluvanyuma lw’ennaku bbiri nga tasumulukuka,basalawo okumusala era nga kino kyakolebwa kikereezi ng’omwaa amaze okufa era nga naye nabaana amaze okufunako obuzibu
Omukyala ono agamba nti omusawo yakimanya nti yali azaddeko nebamusala kyokka yye n’alemerako ng’ayagala azaale bulungi.
Wabula mu kwewozaako, aba Case Clinic babyegaanye nebategeeza ng’omukyala ono bweyali aliko eddagala ly’ekinnansi ly’akozesa nga lyelyavaako obuzibu bwonna
Omusango guno gukyagenda mu maaso mu kooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Yasin Nyanzi.