Amawulire
Aba NUP bawadde abatuuze békaramoja obuyambi bwémmere
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kyé byóbufuzi ki National Unity platform (NUP) kiweereza obuyambi bwemmere ya tanni 500 eri abatuuze mu bitundu byé Karamoja abafa enjala mu budde buno.
Kino kidiridde ababaka ba palamenti abava e Karamoja okutegeeza nti abantu babwe bwebali mu kufa enjala oluvanyuma lwokukosebwa enyo e kyeya.
Kigambibwa nti abantu abafudde bali mu disitulikiti okuli Kotido, Napak, Moroto, and Kaabong.
Olunaku lweggulo ssabaminisita Robinna Nabbanja yabuulidde ababaka ba palamenti nti gavt yalagidde dda minisitule eye byensimbi okuwaayo obuwumbi 135 okudukirira disitulikiti omuli abafa enjala.
Kati mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina e Kamwokya, Senkagale wa NUP, Robert Kyagulanyi, asomoozeza gavt okuvaayo mu bunnambiro okutaasa abantu be karamoja abatakyalina ssuubi.
Agambye nti NUP ewadeeyo tani ze bijanjalo 250 ne za kawunga 250 okudukirira mu mbeera eno era asabye abakuuma ddembe obutalemesa bimotoka byabwe ebigenda okutuusa e mmere eno mu batuuze.