Amawulire
Mao atangaazizza kundagano gyeyakola ne Museveni
Bya Prossy Kisakye,
Pulezidenti w’ekibiina ekivuganya Gavumenti ekya Democratic Party Nobert Mao, atangaazizza abantu ku ndagaano gye yakola ne pulezidenti Museveni gye buvuddeko.
Wiiki ewedde ebibiina bino byombi byakola endagaano y’okukolera awamu, okusinziira ku Mao egendereddwamu okukyusa obuyinza mu mirembe.
Wabula Mao azze afuna okunenyezebwa kungi okuva mu bannakibiina n’ab’oludda oluvuganya ne bamuyita omuliwekwe.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kye kibina mu kampala, Mao nga kati ye minisita w’ebyamateeka agambye nti bannabyabufuzi bangi bamutegedde bubi olw’obutaba nakumanya.
Atangaazizza nti teyeegatta ku kibiina kya nrm wabula yakkiriza okukolerera awamu ne gavumenti ne kigendererwa ekyókukyusa obuyinza mu mirembe bwatyo asabye Bannayuganda obutatabula nsonga.
Mao akkatiriza nti ekigendererwa kye ekikulu kwe kukolagana ne gavumenti okulaba ng’obuyinza bukyusibwa mu mirembe
Mungeri y’emu agumizza bannakibiina abali mu bweraliikirivu oba anaasobola okuweereza nga pulezidenti w’ekibiina ate nobwa minisita mu kiseera kye kimu, agamba nti ye Mugezigezi amanyi bwagenda okubikwasaganya