Amawulire

Abamasomero g’obwa nnanyini bagaanye satifikeeti empya

Abamasomero g’obwa nnanyini bagaanye satifikeeti empya

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2022

No comments

Bya Damali Muhkaye,

Amasomero ga siniya ag’obwannannyini agatakka wansi wa 16,000 okwetoloola eggwanga lyonna gakola nga tegaliiko satifikeeti mpya ez’okwewandiisa zebalina okufuna okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza.

Minisitule y’ebyenjigiriza mu September wa 2020 yasazaamu satifiketi enkadde ezamasomero ag’obwannanyini negalagirwa okutekayo okusaba kwabwe bafune empya nga zizibwa bugya oluvanyuma lwe myaka 5.

Nga wayise emyaka kumpi ebiri, amasomero 1,000 gokka ku masomero ga siniya 17,000 ge gafunye satifikeeti empya.

Ssentebe wa National Private Education Institutions (NPEIA), Hasadu Kirabira agamba nti amasomero mangi gagaanyi okufuna satifiketi empya kubanga entekateeka eno efudde amasomero ag’obwannannyini mu ggwanga okuba agamenya amateeka.

Agamba nti enkola enkakali n’engeri layisinsi zino gye zibeera ez’ekiseera ekitono kifudde amasomero g’obwannannyini obutaba na bisaanyizo bya kufuna nsimbi za bbanga ddene okuva mu bitongole by’ebyensimbi.

Kati bano babaze ekiwandiiko nga basaba minisitule entekateeka eno egisuule mu kisero.