Amawulire

Gavt erabudde abatuuze bé Bugisu abali mu bifo ebyobulabe okusenguka

Gavt erabudde abatuuze bé Bugisu abali mu bifo ebyobulabe okusenguka

Ivan Ssenabulya

August 5th, 2022

No comments

Bya MUDANGHA KOLYANGHA,

Gavumenti esabye abantu abali mu bitundu ebitera okulumbibwa amataba mu bitundu by’e Bugisu ne Sebei okusenguka bagenda mu bifo ebitaliimu bulabe kuba ekitundu kino kikyagenda mu maaso n’okufuna nnamutikwa wenkuba

Bino bifulumidde mu alipoota yómuwandiisi ow’enkalakkalira mu ofiisi ya Ssaabaminisita, Keith Muhakanizi, ey’omwezi gwa guno.

Alipoota okuva mu yafeesi ya ssabaminisita eraze nti abantu nga 1,000 be baabundabunda, amayumba 80 gegayononebwa námalwairo 3 agali ku mutendera gwa health center olw’amataba, agazinda ebitundu bino.

Muhakanizi kati awabudde abantu abakyali mu bitundu ebyobulabe okubyamuka amangu nga tebanafuna buzibu.