Amawulire
Poliisi ewenja omusajja asse mukyalawe nábaana e Wakiso
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi e Wakiso etandise okunoonyeereza ku musajja agambibwa okutiriimbula mukyalawe n’abaana babwe n’oluvanyuma bano nabaziika.
Bino biddiridde maama w’abaana bano okugezaako okubasuulawo agende akube ekyeyo emitala w’amayanja.
Ku baana basse omukulu abadde wa myaka 2 n’omulala abadde wa myeezi 3 gyokka egy’okubukulu.
Amyuka ayogerera Poliisi mu bitundu bya Kampala n’emililaano Luke Oweyesigire, atubuulidde nti bino byonna byabadde ku kyaalo Bwotansimbi wali mu muluka gw’e Buloba mu Gombolola y’a Wakiso mu district yemu.
Oweyesigire agamba nti kali butemu ono atemeza mabega wa mitayimbwa era nga emirambo gya bano bonna gyasobodde okuziikurwa nga gitandise n’okuvunda okuva mu kinnya mweyali yagiziika.