Amawulire

Abavubuka bagala Gavt ebongeze omutemwa kunsimbi za PDM

Abavubuka bagala Gavt ebongeze omutemwa kunsimbi za PDM

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nga Uganda ejaguza olunaku lw’abavubuka olwaleero, abamu ku bavubuka okuva mu kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement, basabye gavumenti okwongera ku mugabo gw’abavubuka mu nsawo ya Parish Development Model.

Okusinziira ku gavumenti abavubuka balina omugabo ogw’ebitundu 30% ku nsimbi zonna ezigenda okuweebwa ebibinja eby’enjawulo.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala, omumyuka wa ssentebe w’abavubuka ba NRM mu masekkati g’eggwanga, Bob Kakuru, agambye nti okuva abavubuka bwebakola ebitundu 78% ku bantu b’eggwanga omugabo gwa 30% mutono nnyo gwanditangira abavubuka bangi abali obubi obutafunamu.

Ategeezezza nti oluvanyuma lw’emyaka 2 ng’eggwanga likosebwa ekirwadde kya covid-19 abavubuka beetaaga okuyambibwa mu bwangu okusobola okudda engulu mu mbeera y’ebyensimbi gye bayitamu mu kiseera kino.

Kakuru mungeri yemu asabye gavumenti okumanyisa abavubuka ku nteekateeka eno okusobola okukomya okufiirwa okuyinza okubaawo olw’obutaba nakulungamizibwa.