Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Rubanda eriko omukulu we ssomero owemyaka 42 nga kigambiwba nti yasobezza ku muyizi.
Omukwate y’omu ku batandisi be ssomero lya Little Angel P/S mu kabuga ke Bubare e Rubanda.
Ono kigambibwa nti yakwenyakwenyezza omuyizi ow’ekyomukaaga ow’emyaka 14 n’amutwala mu kibira kya katitunsi namusobyako.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Eli Matte agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.