Skip to content Skip to footer

Poliisi ezudde emmundu ku bubbi bwe Jinja

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi ezude emmundu eyokubiri gy’ezudde egambibwa nti yeyakozeseddwa mu bubbi obwagudde obutaka ku KCB bank e Jinja.

Omwogezi wa poliisi mu Buvanjuba bw egwanaga Dian Nandaula agambye nti emmundu eno bajijje mu works zone, ku luguudo lwa Nile crescent omukuumi gyeyajisudde nadduka, munda mu nnyumba mwabadde asula.

Abakuumi 2 mu kitongole kyobwnanayini ekya pinnacle security nabantu abalala abatanaba kutegereka, ku pLwokusattu baalumbye banka eno, wabula oluvanyuma nebaddua bwebategedde nti poliisi eyitiddwa.

Leave a comment

0.0/5