Skip to content Skip to footer

Ogwa Besigye gufunye omulamuzi

kyadaaki omuwandiisi wa kooti afunye  omulamuzi agenda okukola kumusango gwa Dr Kiiza Besigye , nga kino Besigye akwtaiddwa natekidiridde file yomusango guno  okugibwa e Kasangati neretebwa mu kampala.

Kinajukirwa nti kooti enkulu yasaba omulamuzi we Kasangati Prossy Tumushabe okuweereza file ya Besigye e kampala, nga eno yeekwata kumusango Dr Besigye mwasabira police emuivire mumakaage e Kasangati gyemukuumidde okuviira dala nga 18th.

Mukaseera kano ,guno omusango guweeredwa  omulamuzi Elizabeth Kabanda ,wabula nga olunaku kwokutandika okuguwulirirako telunamanyika.

Mumusango guno Dr Besigye awawabira ssabapolice wa uganda IGP Kale Kaihura aduumira police mu mambuka ga Kampala Wesley Nganizi nne Andrew Felix Kaweesi.

 

Leave a comment

0.0/5