Abawagizi b’ekibiina kya kya FDC abasoba mu 100 okuva e Rukungiri poliisi ebalemesezza okugenda okulaba ku Dr Kiiza Besigye mu makage e Kasngati.
Bano poliisi ebasaliddeko e Lutete ku lw’e Gayaza.
Mu bano kuliko abakulembeze okuva mu kitundu kino abenjawulo bategezezza nga bwebatayinza kutunula butunuzi nga omwana w’eka bamusibira mu nyumba awatali musango gumuvunanibwa.
Ssentebe wa disitulikiti ye Rukungiri Virginia Kyarugahe agamba baagala kulaba mbeera Muntu waabwe gy’alimu.