Bya Damalie Mukhaye ne Ivan Ssenabulya
Aboludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya Forum for Democratic Change bagala ni wabeewo, okwekennenya ebyava mu kulonnda kwa 2016, nga kyebataddewo ngobukwakulizo bwebanaaba bakwetaba mu nteseganya ezitegekebwa banandiini.
Bwabadde ayogera ne banamwulire, nte tebaneteba amu kafubo naba Interrligious Council of Uganda, ensisinknao ekyagenda mu maaso presidenti wa FDC Patrick Amuriat Oboi agambye nti bakwetaba mu kuteesa kuno, ssinga ekyo banakiriza kikolebwe.
Bano era bagamba nti bagala, wabwweo akubiriza enteseganya eyentengeredde, era gweberondedde.
Ate bbo aba Uganda People’s Congress bagamba kyetagisa okuteesa okwogerwako kubeera kwa namaddala nga buli akwatibwako tebamulese bbali.
Bwabadde ayogera ne banamwulire, ku wofiisi zaabwe ku Uganda House mu Kampala, omwogezi wa PUC Micheal Osinde Orach agambye nti nga tebanatongoza nteseganya zino, betaaga era basisinkane okubaako byebakanyako.
Banadiini mu mukago ogwa Inter-religious council of Uganda, naba Elders Forum bebawomye omutwe mu nteseganya zino.
Bano era bagamba nti waliwo nobwetaavu okusoosa okutabagana nga tebanateesa ku bymumaaso.