Amawulire
Agambibwa okubba ebisawo byéngoye asibiddwa
Bya Ruth Anderah,
Agambibwa okubba ebisawo by’engoye 2 okuva ku musubuzi omu wano mu Kampala agombeddwamu obwaala.
Mwesigwa Sam asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Court Siena Owomugisha amusomedde omusango gw’obubbi nagwegaana.
Amangu ddala oluvanyuma lw’okwegaana omusango omulamuzi amusindiise ku meere e Luzira ajira yebakayo okutuusa September 23rd 2022 lwanadizibwa omusango gutandike okuwulirwa.
Kino kidiridde oluvanyuma lw’oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lydia Nakato okutegeeza kkooti nti okunonyereza mu musango guno kwawedde.
Kigambibwa omusajja ono ebisawo by’engoye yabibba nga nga June 17th 2022 bweyamenya sitoowa yaazo esangibwa ku Ham shopping grounds wano mu Kampala.
Kkooti ekitegedeko nti engoye ezabbibwa zaali za Mugenyi Ivan.