Amawulire

Abasomesa basabye Gavt okuteeka munkola ennambika yabwe

Abasomesa basabye Gavt okuteeka munkola ennambika yabwe

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga ekya Uganda National Teachers Union (UNATU) kiwadde gavumenti amagezi okussa mu enkola enkola erungamya abasomesa empya eya teacher’s national policy.

Ekibiina kino kigamba nti enkyukakyuka mu byenjigiriza tegenda kutuukirira awatali nkola erungamya basomesa enzijuvu.

Ssaabawandiisi wa UNATU, Filbert Baguma ategeezezza Dembe FM nti engeri yokka enkola y’abasomesa mu Uganda gy’erina okukolebwamu mu bujjuvu kwe kuyitira mu bwangu okussaawo olukiiko lw’abasomesa mu ggwanga.

Baguma ayongerako nti n’ekitongole kya Uganda National Institute of Teacher Education kirina okutandika okukola mu bujjuvu nga kiriko embalirira eyetongodde olw’obulungi bw’ekitongole ky’ebyenjigiriza kyonna

Abasomesa olwaleero bategese emikolo gy’okujjukira olunaku lw’abasomesa mu nsi yonna, wadde nga gavumenti yabagaanye okujjaganya leero.

Okusinziira ku minisitule y’ebyenjigiriza, ebikujjuko by’olunaku lw’abasomesa mu ggwanga byakubeerawo nga November 11th