Amawulire

Ababaka basabye abayizi e Mubende ne Kassanda banguyizibwe mu kusoma kwabwe

Ababaka basabye abayizi e Mubende ne Kassanda banguyizibwe mu kusoma kwabwe

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abamu ku babaka ba palamenti okuva e Kasanda ne Mubende bawadde amagezi akakiiko akalwanyisa ekirwadde kye Ebola mu ggwanga, okussaawo etteeka mu disitulikiti ezikoseddwa okuyamba abayizi okutambula mu ddembe nga bagenda kumasomero.

Kino kigendereddwamu okulungamya engeri abayizi gye bayinza okutambulamu mu kifo ky’okutambula engendo empanvu ekiyinza okukosa omutindo gwabwe.

Bweyabadde ayogera eri eggwanga wiiki ewedde pulezidenti Museveni yalangiridde omuggalo ogw’ennaku 21 ku disitulikiti y’e Mubende ne Kassanda okusobola okuziyiza okusaasaana kwa Ebola eyakatta abantu 19.

Omubaka wa Kassanda South Frank Kabuye agamba nti abalondoola ebigezo bagenda kusanga obuzibu okukola emirimu gyabwe singa tewabaawo tteeka erikkiriza abantu abamu okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala

Mungeri yeemu omubaka wa munisipaali y’e Mubende, Bashir Lubega Ssempa avumiridde ekikwekweto ky’abebyokwerinda mwebaakwattidde nebaggalira abantu ababadde bagezaako okugenda ku mirimu okunonya ekikumi.