Amawulire

Poliisi etandise okunonyereza ekivirideko omuliro ogusse abayizi 11 e Mukono

Poliisi etandise okunonyereza ekivirideko omuliro ogusse abayizi 11 e Mukono

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Poliisi e Mukono etandise okunoonyereza ku muliro omufiiridde abaana ba muzibe 11, guno nga gukutte kisulo eky’abaana abawala wali ku ssomero lya Salaam School of the Blind erisangibwa e Ntengyeru mu gombolola y’e Kisoga mu district eye Mukono.

Amyuka ayogerera Poliisi mu Kampala N’emiliraano Luke Oweyesigire atubuulidde nti abalala 06 bali mu mbeera mbi ku Herona Hospital e Kisoga.

Okunziira ku akulira Poliisi ezikiriza Omuliro Joseph Mugisa, omuliro guno kigambibwa gutandise saawa nga 6 n’ekitundu ez’ekilo ekikeesezza leero.

Mugisa agamba nti wabula webatuukidde nga 11 bamaze okufa ate abaana abalala abalumiziddwa nga baddusiddwa mu dwaliro nga biwala ttaka.

Aduumira Poliisi ya Kampala n’emililaano Stephen Tanui ayogeddeko n’abawawulire ng’asinziira ku ssomero awagudde enjega eno.

Mu buufu bwebumu, ne Sentebe wa district y’e Mukono Rev Peter Bakaluba Mukasa naye atuseeko ku somero awagudde enjega eno nategeeza nga essomero lino bwelibadde n’okusoomoza naddala bwekituuka ku ttala kwelitudde nga n’ebimu ku bintu byalyo bizze bibbibwa.