Amawulire

Gavt yakusisinakana abasubuuzi ku bye Ebola

Gavt yakusisinakana abasubuuzi ku bye Ebola

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Minisitule y’ebyobusuubuzi esabye abasuubuzi mu Kampala ne miriraano okussaawo enkola ezinayamba okukomya okusaasaana kw’ekirwadde kye Ebola.

Minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi Harriet Ntabaazi agamba nti, abasuubuzi balina okwenyigira mu kuteekateeka ezinayambako okukomya okusasaana kw’ekirwadde kye Ebola, mu kifo ky’okulinda gavumenti.

Agamba nti ekirwadde kya Ebola kiri mu Kampala n’olwekyo, olw’okutya okudda mu muggalo abantu balina okussa ekitiibwa mu nkola eziteekeddwawo minisitule y’ebyobulamu okusobola okufuga okusaasaana kw’obulwadde buno.

Bino Minisita abyogeredde ku mwoleso gwa gwe byobulimi ebigenderera obutakosa buttoned ná bantu ogwategekeddwa ekibiina kya PELAM –Uganda.

Agamba nti, mu bbanga ttono minisitule egenda kusisinkana abasuubuzi bateese ku ngeri y’okuziyiza okusaasaana kwa Ebola.