Amawulire
KCCA eweereddwa emmotoka 22 ziyambeko mu kulwanyisa Ebola
Bya Ben Jumbe,
Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna kiwaddeyo emotoka 22 okuyambako mu kulwanyisa ekirwadde kya Ebola, okuyita mu kulondoola abantu abagambibwa okuba noobulwadde, n’okumanyisa abantu ku bulabe bwe kirwadde kino mu bitundu bya Greater Kampala.
Emotoka zino zegasseko ezekitongole kya KCCA 18 nga mu kiseera kino ekibiina kya WHO kyekiziwa amafuta ezaaweebwa edda amafuta okusobola okudukanya emirmu okutangira ekirwadde kino okwongera okusaasaana mu ggwanga ne mu kitundu kino.
Bw’ayabadde ayogera eri bannamawulire minisita w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng yagambye nti abalwadde abaakakasibwa okuba ne kirwadde kati bali 109 ate omuwendo gw’abafudde obulwadde bwa Ebola guli 30.
Yagambye nti ebifo bitaano ebijjanjabirwamu abantu bitandise okukola ate ekirala nakyo kyateekebwawo okukola ku balwadde abazuulibwa.