Amawulire

Abagambibwa okubba esimu gamumyukidde mu kaguli

Abagambibwa okubba esimu gamumyukidde mu kaguli

Ivan Ssenabulya

November 4th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abasajja babiri bagasimbaganye n’omulamuzi wa kkoti eya Buganda Road lwakubba ssimu.

Makanga Ibrahim myaka 28 ne mune Jumba Richard myaka 38 era nga batuuze be Namungoona basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we ddaala erisooka Siena Owomugisha abasomedde omusango gw’obubbi ne bagwegaana.

Kigambibwa ababiri bano n’abalala abakyaliira ku nsiko, nga October 25th 2022 ku Luguudo Kyaggwe babba essimu ya Nakalyowa Sarah nga ebalirirwamu ensimbi za Uganda emitwalo 60.

Kigambibwa nti bano babadde befudde berejje ku Luguudo luno okulinaana Arua Park, mu kubba essimu z’abayise era nga omu anyakula nakasukira mune nebabulawo.

Bakudizibwa mu kkooti nga November 19th 2022 omusango gutandike okuwulirwa.